Job 33

1 a“Kaakano ggwe Yobu, wuliriza ebigambo byange:
ssaayo omwoyo ku byonna bye njogera.
2Laba nnaatera okwasamya akamwa kange,
ebigambo byange bindi ku lulimi.
3 bEbigambo byange biva mu mutima omulongoofu;
olulimi lwange, mu bwesimbu, lwogera bye mmanyi.
4 cOmwoyo wa Katonda ye yankola,
era omukka gw’oyo Ayinzabyonna gumpa obulamu.
5 dOnnyanukule nno bw’oba osobola,
teekateeka ebigambo byo onjolekere.
6 eLaba, nange ndi ggwe mu maaso ga Katonda.
Nange nava mu bbumba.
7 fTobaako ky’otya,
sijja kukunyigiriza.
8Ddala ddala oyogedde mpulira,
ebigambo byennyini mbiwulidde ng’ogamba nti,
9 gNdi mulongoofu sirina kibi,
siriiko musango so mu nze temuli butali butuukirivu.
10 hKyokka Katonda anteekako omusango,
anfudde omulabe we.
11 iAsiba ebigere byange mu nvuba,
antwala okuba omulabe we.

12 j“Naye leka nkubuulire, mu kino toli mutuufu.
Katonda asinga omuntu.
13 kLwaki omwemulugunyiza nti,
taddamu bigambo bya muntu yenna?
14 lKubanga Katonda ayogerera mu ngeri emu, n’awalala n’ayogerera mu ngeri endala,
wadde ng’omuntu tassaayo mwoyo.
15 mMu kirooto mu kwolesebwa ekiro
ng’otulo tungi tukutte abantu
nga beebase ku bitanda byabwe,
16 naggula amatu g’abantu,
n’abalabula n’ebyekango,
17alyoke akyuse omuntu okumuggya mu bikolwa ebibi
n’amalala,
18 oaziyize emmeeme ye okukka mu bunnya,
n’obulamu bwe buleme okuzikirira n’ekitala.

19 p“Omuntu ayinza okubonerezebwa, olumbe ne lumulumira ku kitanda kye,
n’alumwa olutatadde mu magumba ge,
20 qobulamu bwe ne bwetamira ddala emmere,
emmeeme ye n’ekyayira ddala ebyassava.
21 rOmubiri gwe gugwako ku magumba,
n’amagumba ge ne gafubutukayo gye gaali geekwese,
22 semmeeme ye n’esembera kumpi n’obunnya;
obulamu bwe ne bulaga eri abo abaleeta okufa.
23 tSinga wabaawo malayika ku ludda lwe,
amuwolereza, omu ku lukumi,
okubuulira omuntu ekigwanidde;
24 uyandimukwatiddwa ekisa n’amugamba nti,
‘Muwonye aleme kusuulibwa magombe,
mmusasulidde omutango,’
25 vomubiri gwe guzzibwa buggya ng’ogw’omwana omuwere,
era guddayo ne gubeera nga bwe gwali mu nnaku ze ez’obuvubuka.
26 wOmuntu asaba Katonda, Katonda n’amukwatirwa ekisa.
Alaba amaaso ga Katonda n’ajaguza n’essanyu,
Katonda n’amuddiza nate ekifo kye eky’obutuukirivu.
27 xAwo omuntu n’akomawo eri abantu n’abagamba nti,
Nayonoona, ne nkola ekyo ekitaali kirungi,
naye ne sibonerezebwa nga bwe kyali kiŋŋwanidde.
28 yYanunula emmeeme yange n’amponya okukka mu bunnya;
kyenaava mbeera omulamu ne nsigala nga mpoomerwa ekitangaala.

29 z“Bw’atyo Katonda bw’akola omuntu
emirundi ebiri oba esatu,
30 aaokuzza emmeeme ye ng’agiggya emagombe,
ekitangaala eky’obulamu kimwakire.

31“Yobu, weetegereze nnyo, ompulirize;
siriikirira nkubuulire.
32Bw’oba ng’olina eky’okwogera kyonna, nziraamu;
yogera kubanga njagala wejjeerere.
33 abBwe kitaba kityo, mpuliriza;
sirika nange nnaakuyigiriza amagezi.”
Copyright information for LugEEEE